Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 249 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Kirumira kati alya Butaala – Ayimbuddwa

February 22, 2018 · Mubiru Ali

ASP Muhammad Kirumira eyali aduumira Police mu Disitulikiti y'e Buyende olwaleero ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ya Police etuula e Naguru mu Kampala era kali alya butaala.

Kirumira okweyimirirwa aleese Senior Supritendant of Police Sam Omara eyali akulira ebikwekweto mu Kampala era n'amweyimirira nga bwekyali kiragiddwa mu kamu ku bukwakkulizo bw'okumukkiriza yeeyimirirwe ng'alina okuleeta okuserikale amusinga ku bitiibwa mu Police.

Wabula Kirumira yeetondedde kkooti olw'engeri gyeyeeyisaamu ey'okukaayuuka n'atabuka n'ayabulira kkooti bweyali alaga obutali bumativu bwe ku bisaanyizo ebikakali ebyali bimuweereddwa okukkirizibwa okweyimirirwa. 

Wabula nga bino byonna tebinnabaawo, Bannamawulire n'abooluganda lwa Kirumira bagaaniddwa okuyingira mu kkooti ya Police eno era eby'okwerinda birabiddwako nga binywezeddwa okukamala era Police erabiddwako egobagana ne bannamawulire okubakwata omubadde owa Vision Group Suleiman Mutebi Ponsiano Nsimbi