Kinkubye enkyukwe, omuntu gwetwabadde naye olunaku lweggulo – Ssaabasumba Kazimba

Pinterest LinkedIn Tumblr +
KINKUBYE WALA KUBA TWABADDE FFENNA OLUNAKU LW’EGGULO: https://youtu.be/o5Ortn6Eqbo
Ssaabasumba wa Church of Uganda Rev. Dr. Stephen Samuel Kazimba Mugalu avuddeyo nakungubagira His Grace Dr. Cyprian Kizito Lwanga, Ssaabasumba wa Kampala afudde olunaku olwaleero nga asangiddwa mu nnyumba ye nga afudde.
Mu bbaluwa gyawandiikidde Abakatoliki, Dr Kazimba agambye nti okufa kwa Dr Lwanga kumukubye enkyukwe kuba babadde naye ku Good Friday nga batambuza enkubo lw’omusaalaba.
“Abadde musajja alwanirira abatalina mwasirizi n’abanyigirizibwa, nga yewaayo eri eddiini ya okulaba nti waliwo obwegassi wamu n’obwenkanya. Tujja kumusubwa nnyo.” https://youtu.be/o5Ortn6Eqbo
Share.

Leave A Reply