Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 141 listening Simba FM Live

Kidandala ne Kakande baagala kusuuza Ssegiriinya ntebe

February 11, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda kavuddeyo nekateekayo okusaba kwako mu Kkooti Ejulirwamu nga kagisaba ereme kuwulira musango gwakujulira Sulaiman Kidandala mwavunaanira Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates ngagamba nti teyalina buyigirize bumala kumusobozesa kwesimbawo ku kifo ky’Omubaka.
Akakiiko kagamba nti Bannamateeka ba Kidandala nga bakulemberwamu Kenneth Paul Kakande tebatuukiriza bisaanyizo byetaagisa oli singa aba anateekayo okujulira mu Kkooti.
Wabula ye Kidandala ne Bannamateeka be bavuddeyo nebategeeza nga bwewaliwo abanene mu Gavumenti abakozesa Akakiiko k’ebyokulonda okutaasa Hon. Ssegiriinya.