Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 746 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

KIDANDALA LEETA OBUJULIZI OBULAGA NTI SSEGIRIINYA WAMUWA EMPAABA YO

August 19, 2021 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Henrietta Wolayo alagidde eyavuganya ku kifo ky’Omubaka wa Kawempe North Sulaiman Kidandala okuleeta obujjulizi obulaga nti ddala yawa Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates empaaba ye nga awakanya obuyigirize bwe nga etteeka bwerigamba.Munnamateeka wa Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda Edwin Tabaro, avuddeyo nategeeza nga bwewatali musango gwawabirwa ku Ssegiriinya kuba tebamuwa mpaaba.Ssegiriinya talabiseeko mu Kkooti yadde okusindika Munnamateeka we nga agamba nti abadde takimanyi nti yaggulwako omusango gwonna nga kimwetaagisa okubeera mu Kkooti.Okuwulira omusango kwongezeddwayo okutuusa nga 2-Sept-2021.