Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 259 listening Simba FM Live

Kibooko enyoose nga Police egumbulula abatuuze abataamye olwa kasasiro – Mubende

April 21, 2016 · Mubiru Ali

Kino kiddiridde abatuuze ku kyalo kya Kisekende okuyoola kasasiro ne bamuyiwa mu luguudo oluva e Mubende okudda e Kampala ekisanyalazza ebyentambula.

Police eyitiddwa bukubirire mu kitundu kino nebatandika okuyoola kasasiro kyokka obwedda buli gwebaggyawo nga abatuuze bazzaawo omulala ekintu ekiggye Police mu mbeera neebaweweenyula kibooko.

Bo abamu ku bakoseddwa embeera eno bategeezezza nti kati emyezi gigenda mu ebiri nga abakozi ba Municipali tebayoola kasasiro songa bwegutuuka ku kubanja ensimbi za lisensi banguwa.

Ye akolanga Town Clerk wa Mubende Municipali Ssempala Emmanuel ategeezezza nti tractor eyoola kasasiro ebadde yayonooneka nga ekyetaaga okuddaabirizibwa nga 16 kyebaggye bagikozese.