Kenya Revenue Authority ekutte emotoka 14

Ekitongole kya Kenya ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo ekya Kenya Revenue Authority (KRA) kyakutte emotoka 14 ezebbeeyi nga zaabadde zikukusiddwa okuva e Bungereza.

Ku zino kwabaddeko Range Rover Sport, nga zakwatiddwa oluvannyuma KRA okutemezebwako nti zabbibwa era nga zabadde zoolekera Yuganda. 12 ku zino zaziddwayo dda e Bungereza nga n’ebbiri zirindirira kutikibwa ku mmeeri zizibweyo.

Kevin Safari nga ye Kamisona avunaanyizibwa kubyamaguzi n’ensalo mu KRA yategeezeza Bannamawulire nti emotoka zino ezibalirirwamu obuwumbi obuwerako zabbibwa mu Bungereza omwaka oguwedde. Kigambibwa nti mu motoka zino mwabaddemu Ranger Rover Sport 2 ez’ebbeeyi nga zabadde zoolekera Yuganda ezakwatiddwa nga zabadde zitikiddwa mu Container wabula. Oluvannyuma lw’okuyisa Container mu byuuma kyazuuliddwa nti zabadde motoka wabula nga empapula zabadde ziraga bintu birala.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Aba opposition tebalina buwagizi