Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 202 listening Simba FM Live

KCCA tesobola kubba ttaka – Kawuju

August 14, 2016 · Mubiru Ali

Kampala Capital  City Authority ekakasizza abantu ababeera mu bifo ebiriraanye omwala gwa Lubigi omuli Bumali – Mali, Bokasa , St. Francis ne Katoogo wamu n’ebitundu ebirala nti babeere bagumyu ng’asula wansi kubanga enteekateeka z’okubaliyirira zikolebwako .

Kino kiddiridde enteekateeka ezigenda mu maaso ez’okugaziya omwala guno kiyambeko okutambuza obulungi ebikyafu ate kisobozese abalongoosa omwala guno okwanguyirwa omulimu gwabwe .

Bino okubaawo kiddiridde abatuuze mu bitundu bino okuva mu mbeera neboogera ebikaawa ng’omususa ku nteekateeka eno ng’abamu bagamba nti kino kyaliba nga kigenderera kunyaga ttaka lyabwe .

Ng’ayogerako ne munnamawulire wa Lubolggola Simba , Ayogerera ekitongole kya KCCA Peter Kawuju agamba nti abatuuze omutima gubabeere wamu kubanga buli kimu kyakyukolebwa misana ttuku ng’esi eraba . Kawuju era agamba nti KCCA tesobola kubba ttaka kubanga ekyo kitongole kya Gavumenti .