Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

KCCA eweze okufuwetera sigala mu bifo eby’olukale

August 1, 2018 · Mubiru Ali

Kampala Capital City Authority (KCCA) eweze mbagirawo okufuwetera sigala mu bifo eby’olukale embagirawo mu kawefube w’okuteekesa etteeka lya 2015 Tobacco Control Act.

Mukutongoza campaign empya etuumiddwa “let’s make Kampala smoke free” akola nga Director wa Public Health and Environment, Mr Daniel Okello agamba nti abantu 30 ku 100 abafa mu Kampala bafa endwadde ezekuusa ku sigala.

Ebifo ebiwereddwamu sigala kwekuli enguudo, amabaala, ebifo ebirirwamu, street n’ebifo awakolerwa. Era nga oyo anakwatibwa nga amenye etteeka lino wakuwa engasi ya mitwalo abiri (200,000/=) oba okusibwa ebbanga erisukka mu myezi omukaaga (6) oba byombi.