Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 186 listening Simba FM Live
News

KCCA ekoze ekikwekweto neyoola ebintu by’abasuubuzi

May 30, 2023 · Mubiru Ali

Abakwasisa amateeka mu Kitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA bakoze ekikwekweto mu Kampala ku basuubuzi abakolera mu Katale k’abalema ne ku Ppaaka enkadde ewatabadde kutaliza muntu yenna era ebintu by’abasuubuzi bingi bitwaliddwa.
Abasirikale ba KCCA ekikwekweto kino bakikoze olw’okukuuma ekibuga nga kiyonjo mu nkola gyebaatuuma Smart City.