Breaking
News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Emboozi yomu Kafunda ne Commander 1 Kalebule Omulebuzi atalebula ne balebula Sula Fulexible agamba nti eddogo eriri mu ndongo teryogerekeka,
ON NOW Weekend Taxi ▶ UP NEXT Simba Sports 2:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 321 listening Simba FM Live
weekend show photo

On Air

Weekend Taxi

Brenda Nansubuga

12:00 PM - 2:00 PM 12:00 PM - 2:00 PM

KCCA eggudde olutalo ku mugotteko gw’ebidduka mu Kampala

June 2, 2016 · Mubiru Ali

Ekitongole kya  Kampala Capital City Authority kitandise kaweefube mwekigenda okusaasaanyiza obuwumbi 600 okugaziya enguudo za Kampala okusobola okukenddeeza omugotteko gw’ebidduka .

Nankulu wa Kampala Jennifer Musisi Ssemakula agamba nti bagenda kugaziya enguudo ez’enjawulo omuli; Kira road e Bukoto, Nakulabye – Bakuli, Mambule road e Bwayise, Makerere  – Wandegeya n’ekulungo ya Fairway Hotel .

Musisi abadde alambula omulimu gw’okukola oluguudo lwa Kira road n’ategeeza nti kuno kukendeeza ku mugotteko gwa bidduka so ssi kugumalirawo ddala .

Ayongerako nti omulimu guno gutambudde kasoobo olw’okutaataaganyizibwa enkuba ebadde efudemba enkya n’eggulo , wabula n’akakasa bannakampala nti webunaatuukira mu gwokubir gw’omwaka oguggya nga omuplimu gujjiddwako engalo .