kcca ebanja pearl of africa hotel obukadde obusoba mu 50

Akatuubagiro k’ebyenfuna mu ggwanga kongedde okunyiga abagagga. Omugagga nnannyini wooteeri ya Pearl of Africa esangibwa e Nakasero emanyiddwa ennyo nga AYA ebibye bibi! Kampala Capital City Authority – KCCA bw’emututte mu kkooti lwa kugaana kusasula musolo gwa wooteeri eno gwa 52,564,176.
KCCA ng’eyita mu kitongole kyayo ekiwaabi ky’emisango y’ewawaabidde kkampuni ya AYA investments (u) Ltd ng’etundira mu linnya lya wooteeri eyitibwa Pearl of Africa esangibwa e Nakasero ku luguudo lwa Akii- Bua. Nga bagala kkooti enkulu etawulula enkayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala emuwalirize okusesema ssente ezo.
Ensonga zino zituuse okusajjuka kiddiridde KCCA okuteekawo etteeka nti wooteeri zonna ne loogi zirina okusasula omusolo guno buli mwezi. Omusolo bagugereka okusinziira ku bakasitoma abazze mu wooteeri eno.
Era mu kiseera kino abanjibwa 52,564,176. Newankubadde ebbanja wooteeri eno balimanyi era nga KCCA ebabanjizza emirundi egiwera byabawaddeko okugaana okusasula ssente zino kwe ku batwala mu kkooti eno ebatawulule.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
dp 2019 emutandikidde mu ggiya nnene