BREAKING NEWS
Observer: Focus turns to Ghana, DR Congo Observer: Uganda, Burundi proudly represented through Australia at World Cup Pulse Uganda: Did former Miss Rwanda Jolly Mutesi scam Bebe Cool? MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout Pulse Uganda: Viral video prompts police hunt for panga-wielding gang that attacked couple East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Kazinda asingisiddwa emisango 3 emirala

Eyaliko Principal Accountant mu Offiisi ya Ssaabaminisita Geoffrey Kazinda olunaku olwaleero asindikiddwa mu kkomera amaleyo emyaka 15 lwa kubeera na byabugagga emisinga enyingizaye.
Kazinda eyakamala e Luzira emyaka 8 olw’okujingirira, obukenuzi wamu n’okufiiriza Gavumenti ensimbi alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ewozesa abakenuzi n’abali b’enguzi Margret Tibulya amusingisizza omusango nga agamba nti ono mukaseera konna kabadde avunaanibwa talaze mutima gwemenya kwebyo byeyakola so nga omusango ogwekuusa ku byensimbi kibalibwa.
Omulamuzi ategeezezza nti tasobola kuleka muntu ngoyo kweyagalira mu nsimbi zeyabba nti era kijja kutumbula okwoza mu nsimbi z’eggwanga wamu n’okulemesa Gavumenti okulwanyisa obuli bw’enguzi.
Omulamuzi era alagidde eby’obugagga bya Kazinda ebiweza obuwumbi 4 mu obukadde 300 biboyebwe IGG era Kazinda awereddwa okufuna omulimu gwonna ogwa Gavumenti okumala emyaka 10.
Omulamuzi awadde Kazinda amagezi abadde tayagala kuzzibwa mu kkomera e Luzira emyaka emirala mingi aleke Maama we ow;emyaka 81 wamu n’abaana be nga babonaabona okujjulira mu naku 14.
Guno gwe musango ogubadde gusigaddeyo kwejho egyamuggulwako IGG oluvannyuma lwa Kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka okuyimiriza emisango gyonna DPP gyeyaggula ku Kazinda.
Okusinziira ku akuliddemu oludda oluwaabi okuva mu offiisi IGG Sarah Birungi wakati wa 2009 ne 2012 Kazinda yalina ensimbi za Gavumenti obukadde 210 zeyasaasanya kukupangisa ebifo ebisulwamu ku Sheraton Hotel okumala emyezi 10, okupangisa emotoka 4 ku bukadde 769 wamu n’ettaka lya buwumbi 3 mu obukadde 600 lyeyagula nga ali mu offiisi ebibalirirwamu obuwumbi 4 mu obukadde 600.to UGX 4.6billion.
Kazinda yavaayo nategeeza IGG nti yali afuna omusaala ne ‘allowances’ eziweza obukadde 83 mu emitwalo 70 nga gwemulimu ogwali gumuwa ensimbi gwokka.
Omu kubalumiriza Kazinda, George Byaruhanga nga yali mukwano gwa Taata wa Kazinda eyafa yeyaleese eddaame eriraga ebyobugagga byeyalina nga ettaka ery’obuwumbi 300 mu obukadde 600 lyeyaggula oliggyeeko nga ali mu offiisi.
Asingisiddwa emisango esatu nga buli gumu gwa myaka 5 wabula omulamuzi nategeeza nti ebibonerezo byonna byakutambulira wamu.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply