Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,485 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kayoola Bus ekozesa amasannyalaze g’enjuba etandika 2018.

February 5, 2016 · Mubiru Ali
Bus Kayoola
Bus Kayoola

Abakungu okuva mu minisitule y’ebyobusuubuzi n’amakolero babikudde ekyama ekya Bus Kayoola ekolera ku masannyalaze g’enjuba etandika okukola mu 2018.

Kayoola nga ekoleddwa aba Kiira Motors Corporation akaseera akayise yayanjulwa Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ovunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu Prof Tikodri Tagboa.

Akolanga akulira Uganda Development Cooperation, Fred Ogene agamba nti Kiira Motors yenyigidde mu kukulaakulanya n’okutondawo obusobozi obukolera emmotoka mu Yuganda.

Ng’ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Gavumenti eky’amawilire – Uganda Media Center, Ogene agamba nti Kayoola yaakwanjulwa eri eggwanga n’ensi yonna ku lwokubiri nga 16 omwezi gwa Mukutulansanja omwaka 2016 ku Wooteeri ya Serena mu Kampala.