Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 286 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

‘kayihura yeyandagira okuwa kitatta emmundu’ – agasirwe

March 19, 2019 · Mubiru Ali

Nixon Agasirwe Offiisa wa Poliisi yavuddeyo olunaku lw’eggulo mu kkooti y’amaggye n’alumiriza eyali mukamaawe Gen. Kale Kayihura okuwa Kitatta Abasirikale ba Poliisi okumukuuma.
Agasirwe yakakasizza nti ddala kituufu Kitatta yalina abasirikale ab’emmundu babiri era yabufuna ku biragiro by’eyali omuduumizi wa Poliisi Kayihura. Ku ky’emmundu ebbiri ezasaangibwa n’omusirikale Ngoobi Sowaali, Agasirwe yakiganyi nga agamba nti yeyalagira bawe Ngoobi emmundu ekika kya bbaasitoola ng’endala eya AK47 tamanyi gye yagiggya.
Ono yategeezezza Ssentebe wa Kkooti eno Lt. Gen. Andrew Gutti nti buli kyeyakolanga yakikolera nga ku biragiro bya Gen. Kayihura eyali mukamaawe nga tayinza kumujeemera.
Omusango gwongezeddwayo okutuusa nga March 25 era bonna abasibe okuli ne Agasirwe baziddwa mu kkomera