Kayihura yatulyamu olukwe – Minisita Nadduli

Minisita owa guno na guli Al Hajji Abdu Nadduli agamba nti emyaka Gen. Edward Kale Kayihura gyeyamala ku bwa IGP yalyamu Uganda olukwe olw’okulemererwa okutuukiriza ebyali bimusuubirwamu Bannayuganda.
Agamba nti amazima gasaana okwogerwa nti Kayihura yalemererwa okukuuma Bannayuganda, okumalawo ettemu n’okuwamba abantu.
Yakyukidde abo abaagala Pulezidenti Museveni agende nti balina okulindako ebbanga eriwerako kuba okumusindikiriza kuyinza okuleetera Bannayuganda okwejjusa. Yagambye nti Museveni ajja kugenda nga ayagadde era alekewo omusika ye gwayagala.

 

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
kkooti eragidde gavumenti eriyirire besigye obukadde 10