Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 204 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

kayihura wakudda mu kkooti nga 11 feb

January 9, 2019 · Mubiru Ali

Abasirikale ba Poliisi 6 nga ku bano kuliko eyali adduumira Flying squard Herbet Muhangi , Nickson Agasirwe, Col. Nduhura Atwooki balabiseeko mu maaso ga Ssentebe wa Kkooti y’amaggye ku misango egifaanaganako n’egyeyali Omuduumizi wa Poliisi Ge. Kale Kayihura.
Gen. Kayihura azeemu okuvunaanibwa nga taliiwo mu kkooti y’amaggye. Omuwaabi wa Gavumenti Maj. Rapheal Mugisha akyuusizza mumpaaba nayongera ku bavunaanobwa nebawera 77. Kino kitegeeza nti Gen. Kayihura naye wakulabikako mu Kkooti y’amaggye nga 11-Feb-2019 n’abalala 7 bavunaanibwe emisango okuli okulemererwa okukuuma eby’okulwanyisa nga bawa Kitatta emmundu, okulemererwa okunnyonyola emmundu zebawanga ebitongole bya Poliisi eby’enjawulo byezakolanga wamu n’okuwamba n’okuzaayo Bannansi ba Rwanda ku kifuba.