BREAKING NEWS
Observer: Uganda makes cattle vaccination mandatory Observer: Ten new airlines eye Uganda’s skies Pulse Uganda: Supporters flock Kira Police to see Erias Lukwago MBU: King Saha backs Portugal for 2026 World Cup, wants Ronaldo’s farewell triumph MBU: Kuseim The Baddest, Ayo Bassboi, and Chemical Ali Nicer share their proudest productions Pulse Uganda: JK Kazoora on why Gen Muhoozi is losing social media race Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Kayihura awaddeyo okusaba okweyimirirwa

Lawyer Kabatsi nga ono yawolereza Gen. Kale Kayihura awaddeyo okusaba kw’omuntu we okweyimirirwa, ono agamba nti omuntu we akyali munnamaggye wa UPDF nga alina emyaka 62, munnamateeka era nga alina n’amaka mu Makindye ku luguudo lwa Ssekindi era nga yakolanga nga IGP okumala emyaka 13. Ssentebe w’ekyalo gyabeera yawandiikira kkooti ebbaluwa ekakasa nti mutuuze we.

Ayongedde n’alaga nti ono alina amaka gabajaja be e Nyakabande mu Kisoro ekitegeeza nti tasobola kudduka.

Lawyer Kabatsi agamba Kayihura tazzanga ku musango gwonna munsi yonna okutuusa ku lw’okutaano lwa week eyise lweyasomeddwa emisango weyasomeddwa emisango gyokulagajjalira ebyokulwanyisa wamu n’okuwamba abantu ekitegeeza nti Munnayuganda agondera amateeka nga olwokuba emisango teginamusinga.

Ye akuliddemu oludda oluwaabi Maj. Rapheal Mugisha agamba  nti okusaba kwabwe yakufunye lunaku lwaggulo  era tanabaddamu, era agamba nti Kayihura talina kuweebwa baol okusinziira ku misango egimuvunaanibwa wabula Kkooti eyinza okumuwa bail n’obukwakulizzo obwamaanyi aleme kuyingirira kunoonyereza era nga bumuleetera okukomawo mu kkooti.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply