BREAKING NEWS
Observer: Until governments act, Africans will seek Western citizenships Observer: Call it what it is: An abduction is not an arrest MBU: I thought I was too cool to get HIV – MC Kats reveals mystery MBU: King Saha announces 2026 concert at Kololo Independence Grounds Red Pepper: HUGE SCANDAL! Newplan Boss Omulen Cited In Fake Money Racket As 11 Are Caged Over Sh11bn ‘Industrial Park’ Land Scam Red Pepper: WAKISO DISTRICT IMPUNITY! Fired Worker Wins Sh36m Court Payout East News: SFC Soldiers Pick Up Former Kampala City Mayor, Elias Lukwago East News: Kabanda Sacked as PLU Secretary General Pulse Uganda: Lukwago taken from home by security operatives Pulse Uganda: Nigerian producer ePianoh urges more collaborations with Ugandan artistes

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Kayihura awadde ensonga lwaki yetaaga bail

Lawyer Kabatsi nga ono yawolereza Gen. Kale Kayihura awaddeyo okusaba kw’omuntu we okweyimirirwa, ono agamba nti omuntu we akyali munnamaggye wa UPDF nga alina emyaka 62, munnamateeka era nga alina n’amaka mu Makindye ku luguudo lwa Ssekindi era nga yakolanga nga IGP okumala emyaka 13. Ssentebe w’ekyalo gyabeera yawandiikira kkooti ebbaluwa ekakasa nti mutuuze we.
Ayongedde n’alaga nti ono alina amaka gabajaja be e Nyakabande mu Kisoro ekitegeeza nti tasobola kudduka.
Lawyer Kabatsi agamba Kayihura tazzanga ku musango gwonna munsi yonna okutuusa ku lw’okutaano lwa week eyise lweyasomeddwa emisango weyasomeddwa emisango gyokulagajjalira ebyokulwanyisa wamu n’okuwamba abantu ekitegeeza nti Munnayuganda agondera amateeka nga olwokuba emisango teginamusinga.
Ye akuliddemu oludda oluwaabi Maj. Rapheal Mugisha agamba nti okusaba kwabwe yakufunye lunaku lwaggulo era tanabaddamu, era agamba nti Kayihura talina kuweebwa baol okusinziira ku misango egimuvunaanibwa wabula Kkooti eyinza okumuwa bail n’obukwakulizzo obwamaanyi aleme kuyingirira kunoonyereza era nga bumuleetera okukomawo mu kkooti.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply