Breaking
News: okwewandiisa mu Ngule kubulako mbale kuggulwewo anti kwa ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 222 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kayihura agobye aduumira police mu Sebei.

January 20, 2016 · Mubiru Ali

Akulira ekitongole kya police General Kale Kayihura agobye abadde aduumira police mu bitundu bya Sebei Gerald Tushime, ku byekuusa kukuduumira okulumba enkambi y’abanoonyi b’obubudamo nebakubamu omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga ekyaviirako abantu okukosebwa, Besigye bweyali mu disitulikiti ye Bukwo ng’awenja a kalulu nti Besigye yali waakuyingira mu nkambi eno.

Obubaka obugoba Tushime Kayihura yabuyisizza ku mukutu gwa mawulire era n’amulagira okweripotinga ku kitebe kya Police mu Kampala.

Musa Nabende abadde aduumira police mu bitundu bya Savanah yaasindikiddwa okuduumira police mu Sebei.