Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 246 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Kawuma tumusiima olwebyo byeyakolera Namulondo – Katikkiro

July 27, 2025 · Mubiru Ali

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, yebazizza ab’enju y’omugenzi Bishop Misaeri Kawuma, eyali omulabirizi we Namirembe olw’obuweereza n’obuwagizi bweyawayo eri Namulondo.

Bino Katikkiro abyogeredde mu Lutikko e Namirembe, Namwandu w’omugenzi Bishop Misaeri Kawuma, Geraldine Ritah Nabuli Kawuma bw’abadde ajaguza emyaka 90 egy’obukulu.

Katikkiro yebazizza omujaguza olw’okuyimirira n’okuwagira bba mu buweereza eri Namulondo ate n’okukuza abaana abamanyi Kabaka n’agattako nti omulabirizi Kawuma emyaka 32 emabega yatikkira Omulangira Ronald Muwenda Mutebi II kati Kabaka, engule enzungu wamu n’okuzza Namulondo mu Lutikko e Namirembe oluvannyuma lw’entalo zeby’obufuzi ezaaliwo mu kiseera ekyo.

Omulabirizi omubeezi owa Kampala eyawummula, Hannington Mutebi bw’abadde ayigiriza akuutidde abantu bulijjo okutya Katonda kubanga mwemusibuka obugunjufu. Era abajjukizza bulijjo okujjukira okwebaza Katonda ku buwanguzi bwebatuuseeko.

Omujaguza, Mukyala Geraldine Ritah Nabuli Kawuma yebazizza omutonzi olw’ekirabo ky’obulamu bwamuwadde kati emyaka 90 mwafunidde ezadde, emikwano, obuweereza mu kkanisa, mu kisaawe ky’ebyenjigiriza, n’okulaakulanya abakyala nga ayita mu bibiina ebyenjawulo.