Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 374 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kawooya awadde abalonzi be ettu

January 15, 2019 · Mubiru Ali

Abatuuze mu Ggombolola y’e Lwebitakuli mu Disitulikiti y’e Sembabule basabye omubaka omukyala akiikirira ekitundu kino Hanipher Kawooya okubayamba ku bbula ly’amazzi ku byalo ebiwerako olw’omusana omunji ssaako okubunyisa amasannyalaze mu bitundu by’e Lwebitakuli.
Okwogera bino babadde basisinkanye Hanipher Kawooya bw’abadde atongoza ekibiina mw’anaayita okutuusa enkulaakulana mu Sembabule ekya Hanipher Foundation nga bino bibadde mu kibangirizi e Lwebitakuli.
Ono abagumizza nti omwezi ogujja agenda kubakwasaganya n’ekitongole kya National water bafune amazzi amayonjo ssaako amasannyalaze nga wano w’asinzidde n’akwasa abakyala motoka ya ambyulensi enaabayambako okubatuusa ku ddwaliro okuzaala, abalimi n’abakwasa ebbomba ezifuuyira, enkumbi n’abavubuka n’abakwasa emijoozi basobole okuvuganya obulungi mu mpaka z’ebyemizannyo