Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 409 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Kaweesi abadde muntu wa bantu – Ssaabasumba Lwanga

March 20, 2017 · Mubiru Ali

Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga mu bubaka bwe bwabadde akulembeddemu ekitambiro ky’e Misa eky’okusabira omwoyo gw’omugenzi Andrew Felix Kaweesi, abadde omwogezi wa Police nga okusaba kuno kubadde ku Lutikko e Lubaga enkya ya leero, avumiridde abantu abenyigidde mu kumutemula(Kaweesi).

Dr. Lwanga agambye nti enkumi n’enkumi z’abantu ebeeyiye Okusabira Kaweesi baalibadde bajjukira nti tuli ku mmoto emu eya Ku lwa Katonda n’ensi yange era nga agamba nti abasse Kaweesi baamenye etteeka ery’ekkumi mu mateeka ekkumi mu bukatoloki.

Mu nnamungi w’omuntu eyeeyiye e Lubaga, Ssaabasumba agambye nti kano kabonero ka nkukunala akooleka nti Kaweesi abadde muntu nnyo wa bantu era omuntu atagenda kuba mwangu kuzzikawo.

Andrew Felix Kaweesi agenda kugalamizibwa ku biggya by a ba Jajja be e Kitwekyanjovu e Kyazanga mu Disitulikiti y’ e Lwengo .