Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Awali Omukka
Now Playing Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Kaweefube w’okulambula ettaka lya Kabaka n’embuga z’amasaza atandise

August 28, 2019 · Mubiru Ali

Minisita w’ettaka, obulimi, ne Bulungibwansi, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, atandise kaweefube w’okulambula ettaka lya Kabaka, embuga z’amasaza n’okukola Bulungibwansi ow’omugundu mu Masaza.

Kaweefube ono amutandikidde Buweekula, ng’eno alambudde essomero lya Good Samaritan P/S e Kyadooki, oluvannyuma yeetabye mu musomo gw’ettaka, Bulungibwansi, obulimi n’obutonde bwensi, era wano abasomesezza obukulu bw’okukuuma ettaka n’ebiwandiiko ebiboogerako wamu n’okulikulaakulanya.

Mu ngeri yeemu, Owek Mariam asisinkanye abalunzi 60 abeegattira mu kibiina kya Mubende Livestock Co-operative Society, nga buli omu alina ente 100 nga bafulumya litre 3,400 buli lunaku.

Bwatuuse ku Mbuga ye Gombolola Mutuba 1 Kitenga, Owek Mariam alambudde olusuku wamu n’emirimu egy’enjawulo egikolebwa ku mbuga eno.

Mukume obutonde bw`ensi kubanga mwe muva n`omuka gwetusa, akubiriza abalimi okufuna abalimisa babayambe okutumbula omutindo kubye balima, era n`okutambuza emisomo ku Ttaka, Obulimi, Bulungibwans

Enteekateeka eno yakubuna Amasaza gonna 18 aga Buganda

📸 Buganda