Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,053 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Kavumba awuumye mu Kiggunda Ky’omwaka 1900

August 7, 2017 · Mubiru Ali

Kyabadde kijjobi era ekyepukulu ekyaleka emmese obuwuulu nga nasinsi w’omuntu akungaanidde mu Kiggunda Ky’omwaka e Kavumba mu Las Vegas mu Disitulikiti y’e Wakiso okujagulizaako Simba ng’eweza emyaka 19 nga eyuuguumya amayengo g’empewo. 

Namungi w’omuntu w’abawagizi ba Simba okuva mu bintundu by’eggwanga eby’enjawulo,  Abayimbi enjolo omwabade : Bobi Wine,  Rema Namakula,  Gravity Omutujju,  Mathias Walukaga,  Sophie Nantongo,  New Eagles,  Desire Luzinda,  Winnie Nuagi,  Irene Ntale, Irene Namubiru,  Willy Mukaabya, Gerald Kiweewa,  Daxx Katel, De n’abalala nfaafa, Bannakatemba wamu n’abakozi ba Luboggola Simba bonna beetabye wamu okubinuka amasejjere. Abantu baalidde,  baanywedde beetiiyudde wamu n’okutiiruula mpaka kkejenge nga era engombo y’e Kiggunda Ky’omwaka guno bwebadde. Yogaayoga Simba!!