Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 283 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

katuntu ku kakiiko ka cosase aliko mubukyaamu – nganda

February 5, 2019 · Mubiru Ali

FDC erabudde omubaka wayo Abdu Katuntu (Bugweeri) obutewaggula kugenda maaso na kukola mirimu gya bwa ssentebe bw’akakiiko ka COSASE akali mu kubuuliriza ku by’okuggalibwawo kwa Bbanka z’ebyobusubuzi ng’egamba nti yamusindika dda ku kakiiko akakwasisa ababaka empisa n’emusikiza Mubarak Munyagwa.
Nganda yagambye nti FDC egenda kuwandikira sipiika Rebecca Kadaga emubuulire ku bulabe bw’okuleka Abdu Katuntu ng’akola emirimu gya sSentebe w’akakiiko ako kuba gyamuggyibwako ne giweebwa omubaka wa Kawempe South, Mubarak Munyagwa.
FDC erumiriza nti Mubarak Munyagwa alina kumyukibwa omubaka wa Kawempe North, Moses Kasibante sipiika gwe yagaana . N’ategeeza nti ekya sipiika okulemeza Katuntu ku bwa ssentebe kimenya mateeka.
FDC era yawakanyizza ebbago ly’etteeka eryaleteddwa omubaka Baryayanga Aja (Kabale municipality) ng’ayagala wabeewo enkyukakyuka mu nnonda y’abakulembera oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti.
Mu bbago Baryayanga ayagala ababaka bonna be baba balonda nampala w’oludda oluvuganya gavumenti n’omumyuka we wamu n’akulira oludda oluvuganya gavumenti era n’omumyuka we.
FDC egamba nti kino kijja kuba kinafuya bibiina bya bufuzi ebigenda okugyibwako obuyinza okwerondera abakulembeze ababirumirirwa babeere mu palamenti.