Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 265 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Katumba naye ayagala bamuwe bullet proff vest

December 28, 2020 · Mubiru Ali
Eyesimbyeewo ku bwa Pulezidenti John Katumba avuddeyo nawanjagira Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Martin Okoth Ochola n’omuduumizi w’eggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF CDF David Muhoozi nga agamba nti babasaba bakuumi ate nebabaweereza ba kifeesi. Katumba agamba nti bagezaako okulagira omukuumi we eyamuweebwa Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda amukube essasi bakimunenyeze nti yeyamusse bwebaali e Fort Portal.
Katumba agamba nti kati ayagala bullet-proof vest oluvannyuma lwokusimattuka yekyeyayise okugezaako okwagala okumutta mu Tooro Sub-Region.
Katumba agamba nti omusajja yatuuka okumunyiga ebitundu bye ebyekyaama wamu n’olubuto. Kifeesi yansongamu emmundu nga agezaako okukuba essasi nagamba n’omukuumi wange nti ajja kumutta.