Breaking
News: Abatamiivu e Nebbi batonedde Ekereziya ssente. News: Bannayuganda abawulira nti Uganda teriimu mirembe mugifulume – Krina Styla News: Gasimbagane-Rwomushana-Ensi yonna ekaaba naye mmwe muwoggana musaba nga Bakafiiri! Mubafunamu ssente
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 194 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM

kattikiro alambudde omulimu gw’okuddabiriza amasiro wegutuuse

February 22, 2019 · Mubiru Ali

Enkya ya leero Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde emirimu egigenda mu maaso ku Masiro e Kasubi n’ekigendererwa eky’okufuna ekifaananyi ekituufu kaweefube w’okuddaabiriza ennyumba Muzibwazalampanga watuuse.

Bwabadde alambula, Katikkiro akinogaanyizza nti Okuzimba Muzibwazalampanga tekiringa kuzimba nnyumba ya bulijjo olw’emisoso egirina okugobererwa.

Agambye nti ebimu ku bisinze okuleetawo okusoomoozebwa mu kaweefube w’okuddaabiriza Muzibwazalampanga kuliko; obukugu obuwerako, okusoka emmuli, n’ebikola ebikozesebwa mu kuzimba bigula ensimbi nnyingi.

Agasseeko nti Obuganda butandise okufuna essuubi kubanga omulimu gw’emmuli gusemberedde okuggwa olwo ogw’okusereka waggulu guddeko.
Ye akulemberamu okusereka Muzibwazalampanga, Wabulaakayole agambye nti kati webatuuse basemberedde okumaliriza emirimu gy’omunda olwo egy’ebweru jiddeko.

Mu ngeri yeemu Katikkiro asiimye aba Nkerettanyi olw’okufissa obudde nebawawula emmuli ezikozesebwa mu kusoka.

Katikkiro abadde wamu n’oweekitiibwa Kaddu Kiberu akulira emirimu gw’okuzzaawo Amasiro, Minisita avunaanyizibwa ku by’obulambuzi Oweek Denis Walusimbi Ssengendo, Oweek Amb Bill Matovu, Oweek Noah Kiyimba, Oweek Richard Mulema Mukasa, Oweek Henry Sekabembe Kiberu,ne Oweek Ritah Namyalo.