Breaking
News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj. News: Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority URA kyavuddeyo nekyanika omukozi wakyo, Sozzi Geoffrey News: Minisitule yebyentambula ngeri wamu ne Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka batandise okukebera emotoka ennene okukakasa nti zisaanidde
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,380 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

kattikiro alambudde abalimi

February 28, 2019 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga yalambudde abantu ba Ssaabasajja abe Mawogola okwongera okubakubiriza okunyiikira okulima emmwanyi wamu n’okulambula abo abaganyuddwa mu nteekateeka y’obwakabaka ey’okuwa abantu endokwa z’emmwanyi basobole okulima bave mu bwavu.
Katikkiro yalambudde abalimi abawerako okuli; Simon Ssebbowa, Ssekyewa Hilary, Biryabalema Patrick, Muwanga, Mugarura wamu n’embuga y’essaza ey’e Mawogola.
Mu kwogera kwe, Katikkiro essira yasinze kuliteeka ku bantu kwenyigiramu nga batandika kati baleme kulinda nkya, ekyo kibasobozese okwenunula mu bwavu olwo basobole okuweerera abaana, n’okufuna emmere y’okulya. Agambye nti omuntu atalina mmere, tasobola kwezimba, wadde okuyamba abalala. Katikkiro era alaze obwetaavu obw’okwongera ku mutindo gw’ebirime kisobozese okuvuganya obulungi mu katale.
Mu lugendo, Katikkiro yawerekeddwako; Owek. Noah Kiyimba, Owek Henry Kiberu Sekabembe, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, Owek Hajji Amis Kakomo, era nga n’abakungu ab’enjawulo okuva mu Gavumenti ya wakati beetabye mu kulambula kuno.