katonda yeyasindika museveni – Bishop

Bishop Michael Lubowa okuva mu ssaza lya Central Buganda mu kkanisa ya St. John’s e Kasaka mu disitulikiti y’e Gomba yavuddeyo n’alabula abavubuka abakozesa obubi social media nebavuma President Museveni bakikomye.

Ono yagambye nti olw’okuba President Museveni musajja muntu mulamu ate muntu ayogera ku by’enkulaakulana, obutebenkevu wamu n’okutwala eggwanga mu maaso abamuvuma abaleka.

Mukubuulira kwe Bishop Lubowa yagambye nti abantu balekere awo okulumba abakulu bamaddiini abawagira President Museveni kuba President Museveni yasindikibwa Katonda okuyamba eggwanga lino wamu n’okulikulembera. Ono yasabye President okuzaawo enkola ya Mchaka – Mchaka kuba eyamba okutereeza abavubuka. Bino byonna yabyogeredde mu mmisa eggulawo omwaka ku St. John’s Cathedral, ku kyaalo Kasaka mu Kanoni Town Council, Gomba District ku lw’okubiri nga President Museveni yeyabadde omugenyi omukulu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Uganda etandise okukola amasimu