Breaking
News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 270 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Kato Lubwama ali ku muliro

January 5, 2017 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala, Margret Oguli Oumo aganbye nti Omubaka mu Palamenti eya Lubaga ey’amaserengeta, Kato Lubwama talina buyinza bujulira ku kyasalibwawo kkooti okukkiriza omulonzi Habib Buwembo okugenda mu maaso n’omusango ng’awakanya empapula ze ez’obuyigirize.

Omulamuzi akisimbyeko amannyo n’ategeeza nti etteeka terikkiriza mu eyawawaabirwa kujulira nga waliyo okusaba okwasooka ku ntandikwa y’omusango guno nga kkooti erina kusooka kuwulira musango. Agamba nti Kato Lubwana bw’aba waakujulira, alina kukikola ย nga kkooti enkulu emaze kuwulira na kuwa nsala yaayo ku musango guno .

Wabula Puliida wa Kato Lubwama, Asuman Basalira yeerayiridde okugenda mu kkooti ezisingawo nga awakanya kino ekisaliddwawo.