Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 130 listening Simba FM Live

Katikkiro yetabye mukuziika muwala wa Oweek Mulyannyamuli

October 30, 2022 · Mubiru Ali

Katikkiro Charles Peter Mayiga atuuse e Nzizi, mu Buddu, okwetaba mu kuziika muwala wa Katikkiro eyawummula, Oweek Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, omugenzi Rose Namakula Makanga. Omugenzi y’afa ekiro ekyakeesa Olwokusatu lwa wiiki eno. Katikkiro mu bigambo bye agambye bwati; “Leero tuziise muwala waffe, Rose Namakula Makanga, ow’Oweek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere. Omwana ono yafa kikutuko n’alekera bakaddebe obulumi obw’amaanyi. Abazadde tuba n’essuubi mu baana baffe okutubeera nga tukaddiye. Kyokka kiruma nnyo era kitiisa nnyo omwana okusooka mukaddewe okufa. Tusaasidde nnyo Oweek. Mulwanyammuli n’Omukyala, olw’entiisa eno, era tusaba omutonzi abagumye. Njogedde ku nsonga zino enfunda eziwera era n’Aboogezi ku mikolo tubatuuza ne twogera nabo naye naffe abazadde tulina obuvunanyizibwa okulungamya abaana mu nsonga zino. Weebale nnyo.”