Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 197 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Katikkiro yeetabye ku mukolo gy’okujaguza emyaka 25, egya Rev. Fr. Daniel Ssemyalo Ssemigga

August 10, 2019 · Mubiru Ali
Katikkiro yeetabye ku mukolo gy’okujaguza emyaka 25, egya Rev. Fr. Daniel Ssemyalo Ssemigga, mu bu saserodooti e Biwanga Mubende, Buweekula.
 
Katikkiro ageraageranyizza obuweereza bw’aba saserodooti nga bwebufaananira ddala n’obwo bwaKabaka kubanga bwetaaga kulemerako okusobola okubufunamu ebirungi. Katikkiro asabye bannaddiini okwogeranga ku bifa embuga eri abakristo kisobozese enteekateeka z’obwakabaka okubuna wamu n’okusasaanira mu bantu ba Buganda yonna gyebakungaanira.
 
Fr. Ssemyalo aweererezzaako mu bigo ebiwerako omuli; Mubende, Kiyinda Mityana, Buyinja butoole, n’ebirala.
 
Omukolo gwetabiddwako omusumba we Mityana, Joseph Anthony Zziwa, abaami b’amasaza, banna byabufuzi n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.