Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 319 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Katikkiro yasisinkanye abaami b’amasaza wamu n’abamyuka baabwe

March 29, 2019 · Mubiru Ali

Ensisinkano eno yagendereddwamu okwekubamu tooki ku ngeri gyebalina okutambuzaaamu emirimu gyabwe Ssaabasajja Kabaka gyeyabatuma.
Mu kwogera kwe, Katikkiro abasibiridde entanda ya nsonga mukaaga (6 points) zino wammanga.
1. Okusoosoowaza enteekateeka eziva embuga
2. Omwami wessaza alina okubeera n’olukalala olw’ebyobugagga byobwakabaka ebikakasiddwa. Wano abasabye babeere neeriiso e joji ku ttaka n’ebizimbe
3. Twegendereze nnyo ebyobufuzi.
4. Babeere n’abantu bonna wamu nga batwaliddemu ababawagira naabo abatabawagira.
5. Basaana okunyweza enkola y’emirimu entongole nga bakola ekyo kyebateekeddwa okukola sso ssi kyebaagala.
6. Abasabye babeere bamanyi mu masaza gaabwe nga bateekawo empuliziganya n’abantu abagundiivu mu masaza gaabwe.
7. Okubeera n’enambika y’empuliziganya entongole egobererwa mu bwakabaka. Nga bayisa obubaka baabwe mu mitendera emituufu okuviira ddala wansi okutuuka ku ntikko.