Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Lutaba Njaliire ▶ UP NEXT Awali Omukka 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 91 listening Simba FM Live
lutaba show photo

On Air

Lutaba Njaliire

Mubiru Ali

4:00 PM - 8:00 PM 4:00 PM - 8:00 PM
News

Katikkiro wa Rwenzururu eyagaana okwetonda akyawerenemba n’emisango

July 11, 2023 · Mubiru Ali
Kkooti Enkulu ewozesa egya Nnaggomola etuula e Kololo mu Kampala wansi w’omulamuzi Alice Komuhangi eyongeddeyo okuwulira omusango gw’okulya munsi olukwe oguvunaanibwa Katikkiro Kitsumbire wa Rwenzururu ne Kamada Masereka okutuusa nga ennaku z’omwezi 8 omwezi guno.
Gyebuvuddeko Kkooti eno yeemu yeggyeereza Omusinga n’abantu abalala abaali ku fayiro eno wabula nerekako Kitsumbire ne Masereka olwokugaana okusaba ekisonyiwo.
Kati Gavumenti eyagala kukola nteekateeka omusango guno gutwalibwe mu Kkooti y’Ensi yonna ewozesa bakkalintalo e Hague mu Buddaaki.