Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 288 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM

Katikkiro Mayiga alangiridde enteekateeka z’okukuza amazaalibwa ga Kabaka

April 11, 2023 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo nalangirira enteekateeka z’okukuza amazaalibwa ga Kabaka wamu nezemisinde gy’amazaalibwa, amazaalibwa gakukuzibwa mu Lubiri e Mengo nga April 13, 2023, wabula nga guno omukolo gw’abagenyi abayite bokka.
Olwo emisinde gy’amazaalibwa gyakubaawo nga April 16, wansi w’omulamwa gwokulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya era Ssaabasajja asiimye okulabikako eri Obuganda ku mikolo gyombi.
Ku mukolo gwamazaalibwa Abagenyi 200 bebayitiddwa, era ng’omukolo gutandika ssaawa mukaaga. Ssaabalabirizi waba Seventh-day yanaakulemberamu essaala.