Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 533 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Katikkiro Mayiga alabudde ku ky’ekkomo ly’emyaka

October 16, 2017 · Mubiru Ali

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye Pulezidenti Museveni okulekeraayo okunenya wamu n’okutiisatiisa emikutu gy’amawulire gattako abo abawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga .

Ng’asinziira mu Lukiiko lwa Buganda e Bulange Mengo olutudde enkya ya leero, Mayiga agamba nti Pulezidenti ne Gavumenti okutwalira awamu yaalibadde essira erissa ku kunnyonnyola ggwanga obulungi obuli mu nnongoosereza ku kuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu kifo ky’okukozesa enkola y’okutiisatiisa .