Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,604 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Katikkiro Mayiga agugumbudde Police ne kkooti ku misango gy’ettaka

May 8, 2017 · Mubiru Ali

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agugumbudde Police ne kkooti olwobunafu obuli mu misango gy’ebyettaka.

Katikkiro gamba nti Police eremererwa okunoonyereza ku misango gy’ettaka egiba giguddewo ate nga abantu basookera ku Police okwekubira enduulu.

” Police eremererwa okunoonyereza ku misango gy’ettaka ate nga abantu gyebasookera okwekubira enduulu, Kkooti okulamula emisango  yeesigama ku bujulizi obukungaayibwa Police, Police bweba n’obunafu mu kunooyereza ku misango, kkooti terina ngeri yonna gyejjakulamula misango egyo mu bwenkanya. Naye  ne mu kkooti mulimu obunafu, ku lunaku lwebaabawa musanga omulamuzi agenze mu lusirika n’olwekyo emisango gy’ettaka gyetuuma . N’olwekyo obunafu bwa Police mu okunoonyereza n’okukungaanya obujulizi mu misango gy’ettaka bwebuleeta emirerembe okugenda mu maaso n’obunafu bwa kkooti”.

Katikkiro okwogera bino abadde mu Lukiiko lwa Buganda mu Bulange e Mengo .