Breaking
News: Wuuno omuvubuka kati Nnaggagga awedde emirimu olwokutandikawo ogumu ku mulimu ogubadde tegukolebwangako mu nsi eno. News: Abawagizi mubakwateko, temubakiriza kuvuga kiddukka kyonna! News: PLU baagala kusirisa opposition bwebalowooza. Balaam beyaleka agobye bameka bebatutte mu Kkooti?!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 512 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Katikkiro Charles Peter Mayiga Omubaka wa Mukono South National Unity Platform Hon.

July 22, 2026 · Radio Simba

🎵 Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Omubaka wa Mukono South ‘National Unity Platform’ Hon. Robert Maseruka ankyaliddeko leero mu Bulange, ne tunyumyamu ku nsonga ez’enjawulo.

Ng’omuvubuka omuto abantu gwe beesigikisa akalulu okubakulembera, musabye okubeera omwesigwa obutayiwaayo bantu baamulonda, asoosowaze ensonga z’abantu b’akulembera, abaweereze mu bwerufu, n’obuvumu ate era mu bwegendereza.

Mmwebaza okukiikanga Embuga era mmusabye okuteeka ku mwanjo ensonga za Buganda n’okulwanirira omugabo gwaffe ebbanga lyonna.

Tumwagaliza obuweereza obulungi🙏”

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News