Breaking
News: Rev. Fr. Achilles Mayanja Ssali nga ye Cathedral Administrator wa Lubaga, yavuddeyo nawa Gavumenti amagezi ku milamwa gwa bulungi bwansi. News: Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Hon. News: Oooo…..kiikyo kiikyo! Ngokyebuuza nti ekyo kiki? Takula omutwe oyanukule kino
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 208 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Katikkiro Charles Peter Mayiga Olwa leero giweze emyaka 13 bukya Beene anzija ku maviivi…!

May 12, 2026 · Radio Simba

⚽ Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Olwa leero giweze emyaka 13 bukya Beene anzija ku maviivi…! Mu bbanga eryo mubaddemu ebintu bingi, nga bino:

1. Okukyusa endaba y’ebintu, abantu okumanya nti waliwo bye tusobola okwekolera (Ettoffaali lyavaamu obuwumbi 10, naye ekigendererwa kyali ku “mindset change”).

2. Okutereeza enzirukanya y’emirimu mu Bulange ne mu bitongole (effective systems of administration).

3. Okumaliriza Amasiro g’e Kasubi ne bbugwe.

4. Okuzimba Masengere.

5. Okutandika BBS Terefayina eyaffe.

6. Okusikiriza bannamikago ab’omuzinzi (waliwo abazimba amayumba e Kigo, Ssentema; Airtel, Centenary n’abala bangi batuwagira nnyo).

7. Okussa omulaka ku byobulamu (Kabaka y’emunyenye y’okulwanyisa mukenenya).

8. Okukunga Obuganda (emisinde gy’amazaalibwa gye gisinga obunene mu Afirika; Omupiira gw’Amasaza gwe gusinga okulabwa mu East Africa).

9. Okuwagira bannabitone (abayimbi; abakubi b’ebivuga; abawandiisi b’ennyimba; abazinyi).

10. Okussa omulaka ku byenjigiriza (Ensawo ya Kabaka ey’Ebyenjir

Radio Simba News