Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Awali Omukka
Now Playing ยท 323 listening Simba FM Live
awali show photo

On Air

Awali Omukka

Prossy Kyeswa

Talk Show 9:00 PM - 12:00 AM
News

Katikkiro Charles Peter Mayiga Ntikudde Amakula ga Kabaka leero, agamuweereddwa abantu be okuva mu Masaza, ebitongole nabantu abenjawulo.

July 30, 2026 · Radio Simba

🗳️ Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Ntikudde Amakula ga Kabaka leero, agamuweereddwa abantu be okuva mu Masaza, ebitongole n’abantu ab’enjawulo.
Amakula by’ebintu ebisinga okubeera ebirungi, eby’omutindo ebiweebwa Kabaka, era nsanyuse nti mu makula agaleeteddwa eri Kabaka mu kujjukira Amatikkira ge okw’omulundi ogwa 33 gatuukira mu mbeera mwetuli okuli ekkeberezo eritambula (Ambulance), Maama Kits, ekyuma ekisalira emiti gya Kabaka n’ebirala omuli n’ente, embuzi, emmere n’ebirala.
Amakula ge tuwa Kabaka gasaana gabeere ago agagendera ku bwetaavu obw’ekiseera ekyo. Kyenva nneebaza bonna abawaddeyo eri Kabaka kubanga kino ky’ekimu ku biggumizza obuwangwa n’ennono zaffe.”

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News