Breaking
News: Ffena tweyiwe mukutongoza Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ku Ssande eno nga 692026 ku St.Mark High School Busaana Kayunga News: Brian Kirumira aka Bryan White, eyimbiddwa ku kakalu ka Kkooti akobuwaze Kkooti Enkulu mu Kampala oluvannyuma lwokumala enaku 293 ku alimanda nga News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye ababaka ba Paalamenti abakiikirira ebitundu ebiri mu Buganda abegattira mu Buganda Parliamentary
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 299 listening Simba FM Live
News

Katikkiro Charles Peter Mayiga Nsisinkanye ababaka ba Paalamenti abakiikirira ebitundu ebiri mu Buganda abegattira mu Buganda Parliamentary

September 4, 2026 · Radio Simba

🎵 Katikkiro Charles Peter Mayiga: “Nsisinkanye ababaka ba Paalamenti abakiikirira ebitundu ebiri mu Buganda abegattira mu (Buganda Parliamentary Caucus), bakulembeddwamu ssentebe waabwe Hon. Robert Migadde.

Ebimu ku bintu bye twagala okwogerako gwe mugabo gwa Buganda mu Palamenti. Obukiise bwaffe mu Palamenti bulina okweyongera okuba obw’amaanyi kubanga Buganda erimu abakiise bangi.

Mbajjukiza nti bbo ly’eddoboozi ly’abantu era balina okwogera ku biruma abantu, okutegeeza Gavumenti n’okunoonya eby’okugonjoola. Tulina okuba n’ababaka ab’omugaso, abawuliriza abantu era abalwanirira ensonga zaabwe.

Tubaagaliza obuweereza obulungi.”

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

Radio Simba News