Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 320 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Katikkiro Charles Peter Mayiga Leero, Abakristo nAbasiraamu batandise Ekisiibo.

February 18, 2026 · Radio Simba

@Katikkiro Charles Peter Mayiga: “Leero, Abakristo n’Abasiraamu batandise Ekisiibo. Amakulu g’Ekisiibo ssi butalya mmere oba okubaako bye twerekereza (newandibadde bitulagirwa). Bwe tusiiba, bwe tubaako bye twerekereza, olw’okulaga obulazi nti tukola Katonda by’ayagala, tuba tutengejjedde bwereere.

Amakulu g’Ekisiibo galina kuviira ddala ku mmeeme zaffe, nga ekiri ku mitima kye kirabikira mu nneeyisa. Bw’osiiba, oba bwe weerekereza by’oyaayaanira bulijjo, naye n’osigala n’ettima ku mwoyo, oba ekiruyi, obusungu, obukyayi, obuggya, obeera osiibira bwereere.

Mbaagaliza Ekisiibo ekijjudde ebibala. CPM”
#ffemmwemmweffe

Radio Simba News