Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 631 listening Simba FM Live

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza akakiiko akagenda okuteekateeka amatikkira ga Kabaka aga 27

June 19, 2020 · Mubiru Ali

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza akakiiko akagenda okuteekateeka amatikkira ga Kabaka aga 27, kakulirwa Owek David Kyewalabye Male amyukibwa Owek Mariam Mayanja Nkalubo. Abalala, Josephine Nantege omuwandiisi w’Enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro, Omwami w’essaza Kyaddondo Kaggo, Agnes Nakibirige, n’abalala.

Bwabadde atongoza olukiiko luno, Katikkiro agambye nti, Amatikkira gakkuzibwa mu Lubiri e Mengo era gakwetabwako abantu batono ddala okwewala okusasaanya ekirwadde kya Corona Virus.
Omulamwa gw’omulundi guno gwakulwanyisa COVID19 ne Mukenenya.

Ssaabasajja Kabaka yali asiimye amatikkira ag’omwaka guno gabeere Kyankwanzi wabula olw’embeera ereeteddwawo ekirwadde kya Corona Virus tekisobose okwewala abantu okukungaana ekiyinza okubaviirako okukwatibwa ssenyiga Corona.