Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 505 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulembeze abalonde aba district ye Kassanda.

April 23, 2021 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulembeze abalonde aba district ye Kassanda. Bakulembeddwamu Ssentebe wa District omulonde Frank Kasirye Zimula.
Bazze okukiika embuga n’okufuna okulambikibwa kw’Obwakabaka ku ngeri gyebalina okutambulira awamu mu kuweereza abantu ba Buganda.
Katikkiro ategeezezza nti ebimu ku biremesezza Africa okukula bebakulembeze okwewalana buli kiseera yadde nga n’ekiseera ky’obululu kiwedde.
Agambye nti omukulembeze abeera wa buvunaanyizibwa nalondoola ekiruma abantu awatali kulowooza kwebyo ebibaawula. Abategeezezza nti yadde babalondedde mu langi zebyobufuzi ez’enjawulo naye ebiruma abantu tebikyuuka, omuli, obwavu, eby’enjigiriza, n’ebyobulamu.
Minisita w’Obuwangwa Ennono n’Obulambuzi, Owek David Kyewalabye Male, alaze okwennyamira nti waliwo abakulembeze abatandise okufuna amaanyi agasinga Obwakabaka. Abasabye okulaga obuwulize eri Namulondo.
Abakulembeze bano baguze Satifikeeti ya 2,620,000/= okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.