Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 227 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Katikkiro Charles Peter Mayiga akyaddeko ku kitebe kya United Arab Emirates mu Kampala

May 20, 2022 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga akyaddeko ku kitebe kya United Arab Emirates mu Kampala, okubakubagiza olw’okufiirwa omukulembeze waabwe Sheikh Kalifa Bin Zayed Al Nahyan. Katikkiro ku kitebe kino ayaniriziddwa Omubaka wa UAE mu Uganda Sheik. Abdalla Hassan Obeid Al Shamsi.
Bw’abadde ayogerako n’omubaka ono, Katikkiro agambye nti enkulaakulana etuuseewo mu UAE mu myaka emitono eraga nti Sheikh Kalifa yali alumirirwa nnyo abantu be, era enkola ye erimu ebyokuyiga bingi eri abakulembeze abalala bwe baba beegomba okubaako eby’enkulaakulana bye baleeta mu bantu be bakulembera.
Agambye nti Obwakabaka bulina enkolagana ne kibiina kya Red Crescent okuva mu Abu Dhabi era mu nkolagana eno baasobola okuzimba amalwaliro abiri e Nsangi mu Busiro ne Kalasa mu Bulemeezi, era Obwakabaka bwagala okwongera okunyweza enkolagana ne UAE okwongera okusaka eby’enkulaakulana naddala mu byenjigiriza ne mu by’obulamu. Agasseeko nti okusinziira ku nkulaakulana eri mu UAE, okukolagana nabo kijja kuyamba nnyo Obwakabaka ne Uganda okutwaliza awamu.