🎵 Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka g’omugenzi Alex Mukulu, okukubagiza ab’enju n’abooluganda olw’okuviibwako omuntu ow’enkizo era agasizza ennyo eggwanga.
Alex Mukulu abadde musajja wa Kabaka ng’afaayo nnyo ku nsonga z’Obwakabaka n’obuwangwa, era atadde ettoffaali ddene mu kisaawe kya bannabitone olw’obuyiiya bwe obwa waggulu, abadde mwoyo gwa ggwanga.
Kirungi nti gavumenti yasazeewo aziikibwe mu bitiibwa, wabula ekisinga kwe kusiima abantu nga bakyali balamu!
Tusaba Katonda, Alex amulamuze kisa.🙏”
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

