Breaking
News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti News: Minisita wAmawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi wObwakabaka, Oweek.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 865 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Katikkiro azzeemu okutikkula oluwalo

February 28, 2023 · Mubiru Ali
Katikkiro Charles Peter Mayiga, olwaleero azzeemu okutikkula Oluwalo mu bimuli bya Bulange. Lwetabiddwamu eggombolola okuva e Buddu, Hon. Medard Lubega Sseggona, MUMUSA High School, okuva e Ssingo, abantu ba Kabaka ab’e Chicago mu Amerika, n’abantu abalala bangi, nga baleese obukadde 34,700,000/=. Katikkiro agambye nti Obwakabaka buvaayo n’enteekateeka ng’Oluwalo ziyambeko okukyusa endaba y’ebintu mu Buganda n’okukomya okwekubagiza.
Annyonnyodde nti ensimbi eziva mu Lulwalo ziyambye nnyo Obwakabaka okubunyisa kaweefube wa Mmwanyi Terimba; okutumbula eby’enjigiriza n’ebyobulamu, awamu n’okuddaabiriza ebifo by’obuwangwa n’ennono.