Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Katikkiro awadde ensonga ennya ezinaakulaakulanya ebyenjigiriza mu ggwanga

Katikkiro awadde ensonga ennya ezinaakulaakulanya ebyenjigiriza mu ggwanga

1) Empisa mu bazadde
2) Empisa mu bayizi
3)Empisa mu basomesa
4)Empisa mu bakozi mu ssomero

Bino abyogeredde ku masomero ga Setlight education center e Kawuku Buzzi ku mukolo gw’okusabira abayizi ba P7, S.4, Ne S.6 abagenda okutuula ebibuuzo eby’akamalirizo.

Kamalabyonna agambye nti “ebimu ku bintu ebitulemesa okwekulaakulanya kwekutya. Naye tukole ebiri ku mmeeme yaffe, tulekere Awo okutya tusse mu nkola byetwagala okukola”.

Katikkiro agguddewo ekizimbe ekisomerwamu kyebatuumye Nabakooza kyebabbudde mu Maama w’omutandisi w’amasomero gano Anthony Wamala.

Setlight education center egatta amasomero ga nursery, primary, ne secondary.

Okusaba kukulembeddwamu omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale, ne Micheal Lubowa owa central Buganda.
Omulabirizi Tamale asabye abakulu b’amasomero okussaawo ebiwandiiko mu luggya lw’amasomero ebiriko ebigambo by’eddiini bisobole okuzzaamu abayizi amaanyi nga basoma.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort