Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 800 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

Katikkiro atongozza obukulembeze bwa Nkobazambogo

December 14, 2018 · Mubiru Ali

Katikkiro yatongozza obukulembeze bwa Nkobazambogo ne Akaliba Akendo obwokuntikko. Luliika Sharif (IUIU), yalondeddwa nga Ssentebe wa Nkobazambogo mu ggwanga, ate Sserwadda Samuel (Kasengejje SS Wakiso) yalondeddwa nga Ssentebe wa Akaliba Akendo mu ggwanga nga kino ky’ekibiina ekitaba abayizi ba Nkobazambogo abali ku mutendera gwa secondary. Mu bubaka bwe gyebali, Katikkiro yalagidde ebibiina by’abavubuka byonna mu bwakabaka biggulewo account mu Essuubiryo Zambogo Sacco, era naategeeza nti singa ebibiina byegatta bisobola okwekulaakulanya nebiganyula ne ba memba.