Katikkiro atongozza Engoma Ggwanga Mujje

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Katikkiro atongozza Engoma Ggwanga Mujje egenda okukubwa abaami ba Kabaka bakubirize abantu okulwanyisa Ssenyiga Kolona.
Mu ngeri yeemu Katikkiro abaddewo nga omujulizi nga Obwakabaka bussa omukono ku ndagaano ne Dreamline Products okusasaanya obubaka bwa Ssenyiga Kolona ku bantu ba Kabaka nga bayita mu kukuba Engoma Ggwanga Mujje.
Oweek Hajji Amisi Kakomo yataddeko omukono kulw’obwakabaka ate Kenneth Mulondo nassaako kulwa Dreamline Products.
Minisita omubeezi owebyatekinologiya n’Amawulire Oweek Joyce Nabbosa Ssebuggwawo asinzidde wano naasaba abasomesa beegemese kisobozese okwanguyiza Gavumenti okukoa enteekateeka z’okuggulawo amasomero.
Mw. Kenneth Mulondo yeyaleeta ekirowoozo ky’engoma Ggwanga Mujje era kyazuulibwa nti kijja kukola ekisaanidde okukunga abantu okukola ekisoboka okulwanyisa Ssenyiga Kolona.
Share.

Leave A Reply

instagram volgers kopen volgers kopen buy windows 10 pro buy windows 11 pro